Tumanyi nti waliwo ensonga ezifuga enkolagana yaffe n'abantu bannaffe. Bwe kityo waliwo ensonga ezitakyuka ezifuga enkolagana yaffe ne Katonda. Katonda ayagala tumanye engeri gye tusaanidde okukolagana naye.


1.ENSONGA ESOOKA

KATONDA AKWAGALA ERA YAKUTONDA OBEERE N'OBULAMU OBW'EMIREMBE N'ESSANYU.

Amanqaku akule ncwadana makafundwe ngo kwayamene neBhayibhile ngaio lonke ixesha xa kunokwenzeka).

OKWAGALA KWA KATONDA
"Katonda yayagala nnyo ensi, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okuzikirira, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo." (Yokaana 3:16)

OBULAMU OBW'EMIREMBE N'ESSANY U
"Nze najja mube n'obulamu era mube nabwo nga bujjuvu." (obulamu obujjudde emirembe n'essanyu nga bya mazima). (Yokaana 10:10).

Lwaki abantu abasinga obungi tebalina bulamu buno obujjuvu?


2. ENSONGA EY'OKUBIRI

OMUNTU YAYONOONA ERA YAYAWUKANA NE KATONDA. N'OLW'EKYO TAYINZA KUBEERA MU KWAGALA KWA KATONDA NEWANKUBADDE OKUFUNA OBULAMU OBW'EMIREMBE N'ESSANYU.

OMUNTU YAYONOONA
"Abantu bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda." (Abaruumi 3:23)
Ekibi kye ki? Ekibi kwe kulemwa okukola ebyo Katonda by'ayagala, era kwe kujeemera Katonda. Omuntu yatondebwa abeere n'omukwano ne Katonda, naye olw'emputtu ye n'okwagala okukola ebibye, yakyamira mu kkubo lye ye, omukwano gwe ne Katonda ne guggwaawo.

OMUNTU YAYAWUKANA NE KATONDA
"Empeera y'ekibi kwe kufa." (Omuntu okwawukanira ddala ne Katonda n'okubonaabona okw'emirembe n'emirembe) (Abaruumi 6:23)

luga1

Katonda mutukuvu, ate omuntu mwonoonefu, Olukonko olunene lubaawudde bombi, Ekifaananyi kino kiraga omuntu ng'agezaako ye yekka okutuuka eri Katonda. Oluusi yeegendereza mu by'eddiini, oluusi asina  Naye, nga bw'olaba, byonna tebimuyamba.

Ensonga ey'okusatu ye yokka etusobozesa okuyita mu kusoberwa kuno...


3. ENSONGA EY'OKUSATU

YESU YE YEKKA AYINZA OKUGGYAWO EKIBI KYAFFE. AYAGALA OKUTUKOMYAWO MU KWAGALA KWA KATONDA N'OKUTUWA OBULAMU OBW'EMIREMBE N'ESSANYU.

YESU YEEWAAYO OKUFA KU LWAFFE
"Katonda alaga okwagala kwe gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyali boonoonyi, Kristo n'atufiirira." (Abaruumi 5:8)

YESU MULAMU LEERO
"Yesu Kristo yalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, bwe yazuukira okuva mu bafu." (Abaruumi 1:4)

YESU LYE KKUBO LYOKKA
Yesu n'amugamba nti "Nze kkubo, n'amazima, n'obulamu; tewali ajja eri Kitange webula ng'ayita mu nze." (Yokaana 14:6)
luga2

Katonda bwe yaweereza Yesu okufa ku musaalaba ku Iwaffe, yatinda olukonko olutwawula naye. Nga bw'olaba mu kifaananyi, kati tuli ba ddembe okuddayo gy'ali.

Naye okumanya obumanya ensonga zino essatu tekimala....


4. ENSONGA EY'OKUNA

KITUGWANIRA BULI MUNTU KU LULWE OKUSEMBEZA YESU NG'OMULOKOZI WE. BWE- TUMUKKIRIZA OKUFUGA OBULAMU BWAFFE, AJJA KUTUKOMYAWO MU KWAGALA KWA KATONDA ERA ATUWE OBULAMU OBW'EMIREMBE N'ESSANYU.

KITUGWANIRA OKUSEMBEZA KRISTO
"Bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye." (Yokaana 1:12)

TUMUSEMBEZA MU KUKKIRIZA
"Mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli; kye kirabo kya Katonda; tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga." (Abaefeso 2:8,9)

TUMUSEMBEZA BWE TUMWANIRIZA MU BULAMU BWAFFE
(Kristo ayogera) "Laba nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula; omuntu yenna bw'awulira eddoboozi Iyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali." (Okubikkulirwa 3:20)

Kino tetukikola Iwa kwogera bwogezi oba kukirowoozaako bulowooza

EBIFAANANYI BINO BITULAGA OBULAMU BWA NGERI BBIRI

OBULAMU OBUTANNABA KUSEMBEZA YESU: OBULAMU OBUMAZE OKUSEMBEZA YESU:

luga3

Ebiddirira birago nga bw'oyinza okusembeza Kristo mu bulamu bwo....

OKUSEMBEZA YESU KITEGEEZA:

  1. Okukkiriza nti oli mwonoonyi n'okukyukira ddala okuva mu bibi byo.
  2. Okwesiga Yesu okukusonyiwa ebibi byo byo-nna.
  3. Okweweerayo ddala eri Yesu akyuse obulamu bwo era akukozese ye by'ayegala.

OYINZA OKUSEMBEZA KRISTO KAAKATI WANO MU KUSABA.
(Okusaba kwe kwogera ne Katonda).

Katonda amanyi omutima gwo; ebigambo byo tabifaako nnyo okusinga bw'afaayo ku ebyo by'alaba mu mutima gwo.Oyinza okusaba bw'oti:


"Ayi Yesu, nsonyiwa ebibi byange. Nkuggulirawo oluggi olw'obulamu bwange. Twala obulamu bwange obufuge era onfuule omuntu omuggya. 

Nkwebaza. Ayi Mukama, olw'okuwulira okusaba kwange n'okuyingira mu bulamu bwange, nga bwe wasuubiza."

Okusaba kuno kukuyamba okwanjulira Katonda ebiri mu mutima gwo? Obanga bwe kiri, saba mu bigambo ebyo, ne Kristo anaayingira mu bulamu bwo nga bwe yasuubiza.


ENGERI GY'OMANYAMU NGA KRISTO ALI MU BULAMU BWO

Kristo yasuubiza okuyingira mu bulamu bwo.   Ddala omusabye okukikola? N'olw'ekyo kati ali ludda wa? Omanyira ku ki nti Katonda azzeemu okusaba kwo? (Mmanyira ku bwesigwa bwa Katonda n'Ekigambo kye), Weebaze Katonda bulijjo kabanga Kristo ali mu bulamu bwo, era tajja kukuleka n'akatono (Matayo 28:20). Olina obulamu obutaggwaawo okuviira ddala ku kaseera ke wasemberezzaamu Kristo, ng'osinziira ku kisuubizo kye. Taayinza kukulimba.

ABAYINGIZA YESU KATONDA ABASUUBIZA OKUBAWA OBULAMU OBUTAGGWAAWO.

"Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we (Yesu). Alina Omwana alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda talina bulamu. Ebyo mbibawandiikidde mmwe, mumanye nga mulina obulamu obutaggwaawo, mmwe abakkiriza erinnya ly'Omwana wa Katonda." (1 Yokaana 5:11-13)


NTEEKWA KUWULIRA NTYA MU BULAMU BWANGE NDYOKE NKAKASE?

Teweesiga nkyukakyuka y'ebirowoozo byo oba embeera y'omubiri gwo, Ekisuubizo ky'Ekigambo kya Katonda bwe bukakafu bwaffe, sso ssi kwewulira kwa mu birowoozo oba mu mubiri, Omukristaayo abeera mulamu Iwa kukkiriza mu bwesigwa bwa Katonda ye nnyini n'Ekigambo kye, Ekifaananyi kino eky'eggaali y'omukka kituwa ekyokulabirako wakati w'AMAZlMA (Katonda n'Ekigambo kye), OKUKKIRIZA (okwesiga Katonda n'Ekigambo kye), n'EMBEERA Y'OBULAMU (eva mu kukkiriza n'obuwulize bwaffe) (Yokaana 14:21)

luga4

Yingini y'eggaali y'omukka y'esika ebiyumba, naye ebiyumba tebiyinza n'akatono kusika yingini wadde okutambula byokka. Mu ngeri y'emu, ffe ng'Abakristaayo tetwesiga mbeera ya bulamu bwaffe, naye takkiriza ne twesiga Katonda n'ebisuubizo by'Ekigambo kye.


Ofuuse omwana wa Katonda, Tewali kiyinza kukyusa mazima gano. Oyinza okuwulira ng'atali mwana wa Katonda; naye kino tekiyinza kukyusa ekyo Katonda ky'akoze mu bulamu bwo.

KAAKATI NG'OMAZE OKUYINGIZA KRISTO MU BULAMU BWO

Obanga oyingizizza Kristo mu bulamu bwo, ebintu bingi ebikubaddeko. Bino bye bimu ku byo:

  1. Kristo ayingidde mu bulamu bwo. (Okubikkulirwa 3:20)
  2. Osonyiyiddwa ebibi byo. (Abakkolosaayi 1:14)
  3. Ofuuse omwana wa Katonda. (Yokaana 1:12)
  4. Otandise obulamu obw'ekitalo Katonda bwe yakutondera. (Yokaana 10:10)

Olowooza otya? Waliwo ekisinga okubeera ne Kristo mu bulamu bwo? Wandyagadde okwebaza Katonda kaakati wano, olw'ebyo by'akukoledde bw'ayingidde mu bulamu bwo? Ekikolwa kye nnyini eky'okwebaza Katonda kiraga okukkiriza kwo.

Biki ebiddirira?


ENGERI GY'OKULAMU OKUBA OMUKRISTAAYO OW'AMAANYI

Okukula mu bulamu obw'omwoyo kuva mu kwesiga Yesu Kristo. "Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza." (Abaggalatiya 3:11) Obulamu obw'okukkiriza bujja kukusobozesa okukula mu kwesiga Katonda mu kwetaaga kwonna okw'obulamu bwo, era ng'okola bino:

  1. NYUMYA NE KATONGA bulijjo mu kusaba. (Yokaana 15:7)
  2. SOMA EKIGAMBO KYA KATONDA buli kaseera (Ebikolwa by'Abatume 17:11), Oyinza okutandikira ku Njiri ya Yokaana.
  3. GONDERA KATONDA buli kaseera. (Yokaana 14:21)
  4. TEGEEZA ABALALA KU YESU mu bikolwa ne mu bigambo byo. (Matayo 4:19; Yokaana 15:8)
  5. WEESIGE KATONDA mu bulamu bwo bwonna. (1 Peetero 5:7)
  6. WEEGATTE N'ABANTU ABALALA abasembezezza. Yesu era abamwagala. (Abaebbulaniya 10:25)

ADDITIONAL ASSISTANCE